Location via proxy:   [ UP ]  
[Report a bug]   [Manage cookies]                
Jump to content

Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bendera

Buganda bwe Bwakabaka bw'Abaganda mu Uganda. Bukulemberwa sabasajja RONALD MUWENDA MUTEBI owokubiri (2)

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Buganda erina ebyafaayo bingi ebiviira ddala eyo mu mirembe egy'edda ennyo. Ssekabaka eyasooka Kato Kintu ye yagireetera okwegatta awamu eyo mu kyasa eky'ekkumi n'ebina, era nga ye yatandikawo ennono y'Abaganda bazzukulu ba Kintu. Buganda yagenda yeeyongera amaanyi n'efuukira ddala obwakabaka obumu ku businga obunene n'okuba obw'amaanyi mu buvanjuba bwa Afirika wakati w'ekyasa eky'ekkumi n'omusanvu n'ekyekkumi n'omwenda. Mu biseera by'obufuzi bw'amatwale, Buganda yagezaako okulwana obutaggyibwako bwetwaze naye Abangereza ne bagisinza amaanyi. Bwe kityo nno Buganda yafuulibwa entabiro y'obufuzi bw'amatwale mu Uganda mu mwaka gwa 1894. Erinnya Uganda, mu Luswayiri eritegeeza Buganda Abangereza lye baasalawo okuyita ettwale lino. Mu bufuzi obw'amatwale Abaganda bangi baafuna obwami obw'okuba ababaka b'abafuzi b'amatwale mu bitundu eby'enjawulo era Buganda yayitimuka nnyo mu kulima ppamba n'emmwanyi.

Oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze mu mwaka gwa 1962, obwakabaka bwa Buganda bwawerebwa Ssaabaminista wa Uganda omubereberye Obote mu 1966. Oluvannyuma wajjawo obufuzi obubi ku mulembe gwa Obote ne nnaakyemalira Idi Amin n'emyaka egy'okweyawulayawulamu mu kibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement ekikulemberwa Yoweri Kaguta Museveni, akulembedde eggwanga erya Uganda okuva mu 1986 era nga ye yazzaawo obwakabaka mu butongole mu mwaka gwa 1993. Kaakano Buganda bwakabaka obutambulira ku bukulembeze obw'ennono era nga bulina obwetwaze obw'ekigero okuva ku gavumenti eya wakati. Kizibu okwogera ku by'obufuzi mu Uganda n'otoyogera ku bugulumbo wakati wa gavumenti eya wakati n'ey'e Mengo.

Okuva obwakabaka lwe bwaddizibwawo mu 1993, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y'abadde alamula Obuganda na guno guliko. Ye Kabaka ow'amakumi asatu mu omukaaga mu lubu lwa Bassekabaka ba Buganda. Nnaabagereka aliko ye Maama Sylvia Nagginda.