Location via proxy:   [ UP ]  
[Report a bug]   [Manage cookies]                
Jump to content

Kalusiyaamu (Calcium)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kalisiyaamu

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka Kalusiayaamu era kayitibwa Atomu ya Kalusiyaamu (Calcium atom)!!

Kalisiyaamu (Calcium):

* Akabonero: Ca
  • Namba y'akaziba : 20
  • Okuva mu ky’olulattini calcis (lime)


Enjuba bw’eba ng’eri mu kukyuka, atomu zayo eza kaboni ne okisegyeni zonna okuzifuula kkalwe (iron), etondekawo atomu ya kalusiyaamu. Akaziba ka kalusiyaamu kamu kaba n’obukontanyo 20 n’obusannyalazo 20 ne nampa 20. Kalusiyaamu kyuma ekiwewufu, nga kigumu okusinga ekikulembero (lead).

Enjuba bw’eba emaze okukyusa atomu zayo okuzizza mu kkalwe, etulika, n’esasaanya atomu za kalusiyaamu mu nabire empya (new nebula). Obuziba bwa kalusiyaamu mu nabire yaffe, eyafuuka ensengekera y’enjuba Muwanga, bwakolebwa mu kitundu ky’ensi ekimu ekifuula kalusiyaamu okuba endagakintu ey’okutaano esingayo okuba mu magombe g’Ensi (Earth’s crust).

Kalusiyamu asinga ku nsi yegasse ne kaboni okukola molekyo za kalusiyamu ne kaboni eziyitibwa kalusiyamukaboneeti (Calcium carbonate) omuva “enjazi ez’ekitendero” (sedimentary rocks) ng’amayinja ga layimu (limestone) ne kyooka (chalk).

Kyokka kalusiyaamu era y’emu ku atomu ezenyigira mu kukola ebiramu. Sipongi (sponges) n’ensolo endala zikola obuzimbe bwazo obugumu mu kalusiyaamu era ensolo zi kaalugamba (chordates) zikola amagumba gaazo n’ebisosonkole by’amagi mu kalusiyaamu.