Obuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)
Gakuweebwa Muwanga !!
Obuwangaaliro obw’obutonde (the natural environment) kitegeeza ebiramu n’ebitali biramu byonna ebikola obutonde bw’ensi ebiramu mwe biwangaalira. Muno mulimu:
(a) Namunigina (Nigina) z’entababutonde(Ecological units) , zino nga nsengekera za butonde ezeyawudde ku muntu nga entababimera (vegetation), obuwuka obusirikitu(microorganisms) , ettaka, enjazi , nampewo(atmosphere), na buli kigenda mu maaso mu butonde ng’enkuba okutonnya oba embuyaga.
(b) Kalonda w’obutonde(Physical or natural phenomena ) nga enkyukakyuka y’embeera z’obudde mu bitundu (Climate), empewo n ‘embuyaga , amasoboza (energy) , oluyengo (radiation), ekisannyalazo kya’amasannyalaze , n’empalirizo za magineeti
Omuntu yeyambisa tekinologiya okulongoosereza obuwangaaliro bw’obutonde ng’azimba amayumba, enguudo, n’ebibuga, awamu n’amalimiro (farms) kw’alimira n’okulundira eby’okulya.