Luganda - Way To God
Luganda - Way To God
Luganda - Way To God
2001 by Rose Goodman. Cover art, Edwin B. Wallace. Meryl Esenwein, art above and on pages 10, 12, 14, 16, 27, 29, 39, 41, 42, 44, 46, 47, and 48. Text reprinted from the Bible in Luganda, 1968 Edition, by permission of the United Bible Societies Africa Regional Centre, Nairobi, Kenya. KATO DA YAKOOLA E SI YAFFE 1 EBI TU EBIRAMU BYO A Olubereberye Katonda yatonda eggulu nensi.Olubereberye 1:1 Kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi. Abakkolosaayi 1:16a Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, eyakola eggulu nensi. Eggulu lye ggulu lya Mukama; naye ensi yagiwa abaana babantu. Zabbuli 115:15, 16 Ensi yali etukiridde Katonda bweyagiwa omuntu. Soma akatabo kanno ozuure biki ebyabaawo. KATO DA YATUTO DA 2 Katonda nayogera nti Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe; bafugenga...ku nsi.Olubereberye 1:26
OMU TU AFUUKA EMMEEME E AMU 3 Mukama Katonda nabumba omuntu nenfuufu yensi, namufuuwamu mu nnyindo omukka ogwobulamu; omuntu nafuuka omukka omulamu [emmeeme]*.Olubereberye 2:7 Mukama Katonda nayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka. Mukama Katonda naleetera
omuntu otulo tungi, ne yeebaka; namuggyamu olubiriizi lumu, nazzaawo ennyama mu kifo kyalwo. Mukama Katonda nazimba olubiriizi, lwaggye mu muntu, okuba omukazi, namuleeta eri omuntu.Olubereberye 2:18a, 21, 22 *Emmeeme enamu kiteegeza nti tujja kubeera awantu emirembe gyonna. ADAMU E KAAWA BAJEEMERA KATO DA 4, 5 Tetwandiwuliriza nakatono ddobozi lya Sitaani. Mukama Katonda natwala omuntu, namuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. Mukama Katonda nalagira omuntu namugamba nti Buli muti ogwomu lusuku olyangako nga bwonooyagalanga: naye omuti ogwokumanya obulungi nobubi togulyangako: kubanga olunaku lwoligulyako tolirema kufa. Olubereberye 2:15-17 OMUSOTA ERA OGUYITIBWA OMUKEMI, OBA SITAANI GWAFUULA OBUYINZA BWA KATONDA NE GWOGEERA OBULIMBA. Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. Omukazi bwe yalaba ngomuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, nomuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, nanoga ku bibala byagwo nalya.Olubereberye 3:4, 6 ADAMU E KAAWA BALI TEBAKYAAYI ZA KUBEERA MULUSUKU ATE 6 Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. Nazzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era nekitala...okukuumanga ekkubo eryomuti ogwobulamu. Olubereberye 3:23, 24b
KYALI KYA AKU YO ERI OMU TU 7 ADAMU E KAAWA BWEBAYO OO A ...Ku bwomuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olwekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna.... Abaruumi 5:12 Ekintu kyokujukira Buli muntu azaalibwa nekibi lumu alifa kubanga okufa kwajja ne kibi. (Soma Abaruumi 5:12 nate.) E TEKATEEKA YA KATO DA OKUTU U ULA OKUVA MUKIBI 8 KYALI KUWEEREZA MWA AWE Okuyingira mumbeera yobuntu omwana wa katonda yalina okujjira mumubiri bwo bwaana obuweere.
Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe. Matayo 1:21 Kubanga [Kristo Yesu] mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okwObwakatonda ngomubiri bwe guli. Abakkolosaayi 2:9 YESU KATO DA MU BU TU 9 Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo naba awali Katonda, Kigambo naba Katonda. Kigambo nafuuka omubiri, nabeerako gye tuli. Yokaana 1:1, 14a Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire mukama bye yayogerera mu nnabbi, ngagamba nti Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe. Matayo 1:22, 23 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owobulenzi aweereddwa ffe; nokufuga kunaabanga ku kibegabega kye: nerinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda owamaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu owemirembe. Isaaya 9:6 YESU KRISTO YE SSADDAKA YAFFE ETUKIRIDDE 10 Ataamanya kibi. 2 Abakkolinso 5:21a Ataakola kibi. 1 Peetero 2:22a Tewali ssaddaka yonna etukiridde omuntu gyayinza okukola emala okugyawo ebibi. Kubanga tekiyinzika omusaayi gwente ennume nembuzi okuggyako ebibi. Abaebbulaniya 10:4 Yesu endiga ya katonda. Laba, Omwana gwendiga gwa Katonda, aggyawo ebibi byensi!Yokaana 1:29b YESU YAWAAYO OBULAMU BWE OKUTULOKOLA 11,12 Yesu yakomererwa kumusalaba ogwomuti abantu abakabwe bamukyawa. Naye okufa kwe yali ntekateeka ya Katonda. Mukusaalawo kwa Yesu kwe ye nawaayo obulamu bwe okulokola ggwe nange okuva mu bibi byaffe. Yesu yagamba, Tewali abunziyako [obulanu bwange], naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obwokubuwaayo, era nnina obuyinza obwokubutwala nate.Yokaana 10:18a TWA U ULIBWA OMUSAAYI GWE DIGA YA KATO DA Nga mumanyi nga temwanunulibwa [obatetwagulibwa] na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu,...wabula nomusaayi ogwomuwendo omungi, ngogwomwana gwendiga ogutaliiko bulema newankubadde ebbala, ye Kristo. 1 Peetero 1:18, 19 Tewali kiwebwaayo kirala kyonna ekiyinza okujjawo ekibi. Byayagala twatukuzibwa olwokuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu. Abaebbulaniya 10:10b
Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olwomusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe. Abaruumi 5:9 Nagamba nti Yesu, onjijukiranga bwolijjira mu bwakabaka bwo. Lukka 23:42 Ono omubi yakiiriza Yesu nalokole-bwa. Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.Lukka 23:43b Ono omubi teyakiiriza Yesu era teyalokoka. Kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo natufiirira.Abaruumi 5:8b A ABAKIIRIZA OMWA A WA KATO DA BALI A OBULAMU 13
BO
Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bwati, nokuwaayo nawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere nobulamu obutaggwaawo.Yokaana 3:16 Eyatulokola mu buyinza obwekizikiza, natutwala mu bwakabaka obwOmwana we omwagalwa; mwe tubeerera nokununulwa,* kwe kusonyiyibwa kwebibi byaffe. Abakkolosaayi 1:13, 14 *Okununulwa kiteegeza nti twagulibwa nate. YAZUUKIRA! 14 Naye malayika naddamu nagamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.Matayo 28:5, 6
YESU YAZUUKIRA OKUVA MUBAFU 15 Era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe nemirembe, era nnina ebisumuluzo ebyokufa nebyEmagombe. Okubikkulirwa 1:18 Kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.Yokaana 14:19b Kubanga Kristo yawangula okufa era alina ebisumuluzo bwokufa. Nolwekyo tekitwetagisa kutya kufa. Buli lwe nnaatyanga, neesiganga ggwe. Zabbuli 56:3 (Laba kumuko 46 olwebisubisubizo bya Katonda.) YESU ASOBOLA OKUKULOKOLA ERA OKUSABIRA Naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, ...Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga. Abaebbulaniya 7:24, 25
GGWE A GE TUYII ZA OKUFU A OBULAMU OBUTAGWAAWO 16 OBULAMU OBUTAGWAAWO Kkubo ki lyotwala? Yesu Kristo lyekkubo mubulamu obutagwaawo ne Katonda. Setaani lyekkubo lyo kufa okwemirembe gyonna. Omulenzi ono asazeewo ekitufu eri obulamu obutagwaawo. OKUFA OKWOLUBEERERA KUSAALAWO KI KWOLO ZEWO? 17 ...Mulonde leero gye munaaweerezanga....Yoswa 24:15 Weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe nezzadde lyo. Ekyamateeka Olwokubiri 30:19b YESU LYEKKUBO LYOBULAMU OBUTAGWAAWO So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi weggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola. Ebikolwa ByAbatume 4:12 Nze, nze mwene, nze Mukama; so tewali mulokozi wabula nze. Isaaya 43:11 LWAKI TUSAALAWO OKUTWALA YESU BWETUBA TWAGALA OBULAMU 18-21 OBUTAGWAAWO? 1. Kristo ye yajja. ...Nze najja zibe nobulamu....Yokaana 10:10 2. Kristo yeya twagala era naafa kulwaffe. Omwana wa Katonda eyanjagala nneeweeyo ku lwange.Abaggalatiya 2:20b Yesu yafuuka omuntu, omubiri nomusaayi nga ffe, kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi agokufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olwentiisa yokufa. Abaebbulaniya 2:14b, 15 3. Omusaayi gwa Yesu ggwoka gwegutujjako ebibi byafee. Kubanga omusaayi gwe gutangirira olwobulamu.EbyAbaleevi 17:11b Nomusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna. 1 Yokaana 1:7b Mwe tubeerera nokununulwa, kwe kusonyiyibwa kwebibi byaffe. Abakkolosaayi 1:14
4. A Kristo ye yekka eyazuukira mubafu. Bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.Abaruumi 6:9 Naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bwoyo eyabafiirira nazuukira.2 Abakkolinso 5:15 Yesu yagamba, Kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. Yokaana 14:19b 5. Tutekwa okufuku omwoyo wa Kristo muffe tulyoke tuzukirire obulamu obutagwaawo (okubeerawo emirembe gyonna). Kristo mu mmwe, essuubi eryekitiibwa.Abakkolosaayi 1:27b Naye oba nga Omwoyo gwoyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era nemibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bwOmwoyo gwe atuula mu mmwe. Abaruumi 8:11 KAKASA TI OMWOYO WA KRISTO ABEERA MUGGWE Naye omuntu bwataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe [ssi wa Kristo]. Abaruumi 8:9b A 22,23
Nabawambaatira, nabawa omukisa, ngabassaako emikono. Makko 10:16 Yesu anjagala kino nkimanyi kubanga bayibuli ekingamba. Era nomwana omuto yeemanyisa olwebikolwa bye. Engero 20:11a Naye Yesu nabayita ngagamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ngabo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.Lukka 18:16 Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.Matayo 18:14 Sinsonga gwe anni oba obeera wa Yesu akwagala nawe. Oyinza okulaga okwagala kwo kulwa Yesu nga tumugondera. Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. Yokaana 14:15 E GERI YOKUZULAMU EKKUBO LYOKUTUUKA EWA KATO DA 24 1. Kkiriza nti oli mwonoonyi (era wajeemera Katonda). Kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda. Abaruumi 3:23
2. Jjangu eri Katonda okuyita mu Kristo. Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda nabantu omu, omuntu Kristo Yesu.1 Timoseewo 2:5 Era kyava [Yesu] ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe. Abaebbulaniya 7:25a Yesu yagamba, Ajja gye ndi sirimugobera bweru nakatono. Yokaana 6:37b 3. Wenenye ebibi byo. (Okwenenya kitegeza okukikyawa nokukivirako ddala.) Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe.Ebikolwa ByAbatume 3:19a Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ngabalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. 2 Peetero 3:9 4. Yatula ebibi byo yatula ebibi byo eri Yesu. (Okwatula kitegeeza nti kwekukyogera.) Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazi ma era omu tuuki rivu okutuso nyiwa ebibi byaffe.1 Yokaana 1:9a Kumisittale wansi wandiika enyiriri. 1 Yokaana 1:9 bye-wasaanze mu mukono ogusaba kumuko 25. ____________________________________________ ____________________________________________ ____________________________________________ ____________________________________________ 5. Wegaanire ddala ebibi byo. (Okwegaana kitegeeza okukivirako ddala.) Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula nakuleka alifuna okusaasirwa.Engero 28:13 Ovenga mu bubi, okolenga obulungi. Zabuli 37:27 6. Kkiriza Yesu 27 Kristo. Bwoyatula Yesu nga ye Mukama nakamwa ko, nokkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.Abaruumi 10:9b Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe nennyumba yo.Ebikolwa ByAbatume 6:31b Kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza;... kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. Abaefeso 2:8, 9 7. Kkiriza Yesu Kristo mu mutima gwo ne mubulamu.
Kyolina okukola kyokka kwekuguulawo olugi lwomutima gwo era okkukize Yesu oyingire, Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bwawulira eddoboozi lyange, naggulawo oluggi, nnaayingira gyali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.Okubikkulirwa 3:20 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye. Yokaana 1:12 E DAGIRIRO YOKUSABA 29
Bwoba nga togezaangako kusaba wetaga okuyambibwa mukusaba oyiinza okugoberera okusaba nge ndagiriro eyo wansi: Owomukwano mukama Yesu, Webale olwokufa kumusaalaba okutwala ebibi byange. Nsonyiwa olwe byo byonna ebikyamu byenakola. Nkusaba nobuwombefu ojje mu mutima era obere mu mutima gwange emirembe gwonna kwesigira ddala okuba omulokozi wange era mukama. Mulinya lya Yesu, Amina. WAMU E YESU MU MUTIMA GWO OLI A 30 OBULAMU OBUTAGWAWO (OBWOLUBERERA) Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. Alina Omwana alina obulamu. 1 Yokanna 5:11b, 12a Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, nakkiriza oyo eyantuma,...naye ngavudde mu kufa okutuuka mu bulamu. Yokanna 5:24 Omubiri guno bwegufa kwe kubela wamu ne mukama (2 Abakkolinso 5:8). Kristo mu mmwe, essuubi eryekitiibwa.Abakkolosaayi 1:27b Bwomala okusaba Yesu okusonyiwa ebibi byo. Era nokkiriza mukama Yesu Kristo okuba omulokozi wo wandiika erinya lyo wansi: E GERI YOKUSIGALA GA 31
Soma engiriri mu Baibuli (Ekigambo kya Katonda) buli lunaku era ozitereke mu mutima gwo ziddingane ezo ezenjawulo ezikuyamba. (Nyingi ziri mukatabo kano akatono.) Buli ekyawandiikibwa kirina okulu amya kwa Katonda, era kigasa olwokuyigirizanga, [kyokkiriza,] olwokunenyanga, olwokutereezanga, olwokubuulira okuli mu butuukirivu.
2 Timoseewo 3:16 YOGERE E YESU MU KUSABA BULI KISEERA 32 Webaze Yesu olwebirungi mu bulamu bwo. Mutendereze olwebyo bya kukoledde nolwokulokola emmeme yo. Sabira buli kyetaago kyo kyolina. Saba mu linya lya Yesu. Bwe tusaba ekintu nga bwayagala, atuwulira. 1 Yokanna 5:14b ...Musabiraganenga.... Yakobo 5:16 Musabirenga ababayigganya.Matayo 5:44b OKUSABA YESU KWEYAYIGIRIZA ABATUME BE 33 (Omutume ye muntu agoberera Yesu.) Yesu yagamba abatume be okusaba mungeri eno: Kale, musabenga bwe muti, nti Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe eya leero. Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako. Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwakabaka, nobuyinza, nekitiibwa, bibyo, emirembe nemirembe, Amiina. Matayo 6:9-13 Okusaba kuno kutekwa okudinganibwa. Omukkiriza buli kaseera saba mulwatu. A MATEEKA EKUMI GA KATO DA GATUYIGIRIZA E GERI YOKUBA ABALAMU 34,35 (Essula 20 Okuva ) Ana agasooka gakwata kukwagala kwaffe eri Katonda 1. Tobanga na bakatonda balala we ndi. 2. Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi ekyekintu kyonna kyonna,...tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga.... 3. Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo.... 4. Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. Omukaga agasembayo bakwata ku kwagala kwaffe eri omuntu AMATEEKA 10 (GEYO GEYORAYO) 5. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.... 6. Tottanga. 7. Toyendanga (Obukaba bwebutali bwesigwa bwomu kubafumbo omukyala oba mwami, okwetaba nomulala atali wuwe.) 8. Tobbanga. 9. Towaayirizanga muntu munno. 10.Teweegombanga ennyumba ya muntu munno,...ne wakubadde buli kintu ekya muntu munno.
OKUGO DERA KATO DA KULEETA OKUDIBWAMU OKUSABA KWO Era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. 1 Yokaana 3:22 AMATEEKA ABIRI AMAKULU 36 Yagala Katonda 1. Naye namugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo nomutima gwo gwonna, nobulamu bwo bwonna, namagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu ekyolubereberye.Matayo 22:37, 38 Yagala muntu munno 2. Nekyokubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Matayo 22:39 Amateeka ekumi mumpapula (34 ne 35) gonna gasibidwa mwago abiiri amakulu. KWAGALA A 37,38
Bwe njogera nennimi zabantu neza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga nebitaasa ebisaala. 2Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna nokutegeera kwonna; era bwe mba nokukkiriza kwonna, nokuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. 3Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. 4Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, 5tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; 6tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu namazima; 7 kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. 8Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
13
Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. KATO DA KWAGALA Katonda kwagala; noyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 1 Yokaana 4:16b YESU AYAGALA OWE OBUJULIZI 39
ERI ABALALA (awaka, kusomero, kukanisa, nawalala wonna) Yesu yagamba, Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda byakukoledde, ne bwakusaasidde.Makko 5:19b
E GERI YOKUMYAMU OMWA A OMUTUFU OWA KATO DA 40,41 Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. Matayo 7:20 Naye ebibala byOmwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza. Abaggalatiya 5:22, 23a OMWA A OMUTUFU OWA KATO DA ASO YIWA ABALALA Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.Matayo 6:14 EBI TU 7 KATO DA BYAKYAAWA Amaaso agamalala, olulimi olulimba, nengalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; omujulirwa wobulimba ayogera ebyobulimba, noyo asiga okukyawagana mu boluganda. Engero 6:17-19 EBIKOLWA BYOMUBIRI: ...Obwenzi, empitambi, obukaba [okwegatta natali mufumbo], okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka,...ettima, obutamiivu,...nebiri ngebyo:...bali abakola ebiri ngebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Abaggalatiya 5:19-21 ...Abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi.... 1 Abakkolinso 6:9, 10 LEEKA YESU AKUJJUZE OMWOYOWE ERA AKUFUULE OMULU GI Era abamu ku mmwe mwali ngabo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa,...olwerinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, nolwOmwoyo gwa Katonda waffe. 1 Abakkolinso 6:11 GEYEE A KIFO GYEKIRI DDALA 42 (Soma mu Luuka 16:19-26.) Kakasa nga wesiiga Yesu Kristo. Ajja kuteeka eriinya lyo mu kitabo kyobulamu. Era omuntu yenna ataalabika ngawandiikiddwa mu kitabo ekyobulamu, nasuulibwa mu nnyanja eyomuliro.Okubikkulirwa 20:15
AYAMBA! YESU LYE KUBO LYOKKA ERIKUTUSA EWA KATO DA 43 Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. 1 Yokaana 5:11b Kubanga empeera yekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe. Abaruumi 6:23 Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. Yokaana 3:36 Yesu namugamba nti Nze kkubo, namazima nobulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ngayita mu nze.Yokaana 14:6 EGGULU KIFO GYEKIRI DDALA 44
Mu kubikkulilwa Yokaana 21 yalaba eggulu erijya nensi empya. Naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: ebyolubereberye biweddewo. Noyo atuula ku ntebe nayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya.Okubikkulirwa 21:4, 5a Era Yokaana yalaba ekibuga ekituukuvu, nekibuga ekijjya, nga kikka wansi okuva ewa Katonda muggulu. Nekibuga kya zaabu ennungi, ngendabirwamu ennungi. Emisingi gya bbugwe wekibuga gyayonjebwa na buli jjinja eryomuwendo omungi. Okubikkulirwa 21:18b, 19a YESU YAGE DA OKUTEKATEEKA 45 Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi ebyokubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga enda okubateekerateekera ekifo. Era oba nga enda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. Yokaana 14:1-3 TEGEEZA AMAWULIRE AMALU GI GA O ERI ABALALA
Yesu yagamba, ti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna. Makko 16:15b oyo alina amagezi afuna emmeeme zabantu.Engero 11:30b
EBISUBIZO BYA KATO DA ERI ABAA ABE 46 Sirikuleka nakatono, so sirikwabulira nakatono.Abaebbulaniya 13:5b Kubanga alikulagiririza bamalayika be, bakukuume mu makubo go gonna. Zabbuli 91:11 So tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. Yokaana 10:29b ...Nze ndi wamu nammwe ennaku zonna.... Matayo 28:20 Totya byogenda okubonaabona....Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule eyobulamu.Okubikkulirwa 2:10 ...Mpita, nange naakuyitaba....Yeremiya 33:3 YESU AKOMAWO ATE 47 Buli muntu yenna alizuukizibwa okuva mubafu. Kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; nabo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango. Yokaana 5:28b, 29 Abafu abafiira mu Kristo bebalisooka okuzuukira. Naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 1 Abasessaloniika 4:17 Mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. Makko 13:33b YESU ALIJJA ATYA? 48 Laba, ajja nebire; era buli liiso lirimulaba. Okubikkulirwa 1:7a Wekume ba kristo abobulimba ne bannabbi bobulimba. Omuntu bwabagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga. Bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga. Matayo 24:23b, 26b YESU ALIJJA MANGU DDALA MUBIRE EBYOMUGGULU Kubanga ngokumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kwOmwana womuntu. Nebika byonna ebyensi...biriraba Omwana womuntu ngajja ku bire ebyeggulu namaanyi nekitiibwa ekinene. Matayo 24:27, 30b
ZABBULI YOMUSUMBA
1
Mukama ye musumba wange; seetaagenga. 2Angalamiza mu ddundiro eryomuddo omuto: Antwala ku mabbali agamazzi amateefu. 3Akomyawo emmeeme yange: Annu amya mu makubo agobutuukirivu ku lwerinnya lye. 4 Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu ekyekisiikirize ekyolumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo nomuggo gwo bye binsanyusa. 5Onteekerateekera emmeeza mu maaso gabalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa. 6 Obulungi nekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ezobulamu bwange: ange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi. Kabwerere Tekatundibwa
If you are interested in receiving additional Scripture booklets, write to the publisher in English at the address below or order online:
World Missionary Press, Inc. P.O. Box 120 New Paris, Indiana 46553-0120 U.S.A.