Location via proxy:   [ UP ]  
[Report a bug]   [Manage cookies]                
Jump to content

Kieran Tierney

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kieran Tierney

 Template:Infobox football biography

Kieran Tierney (yazaalibwa nga 5 Ogwomusanvu 1997) muzannyi wa mupiira mutendeke ow'e Scotland azannya ng'omuzibizi ku lugoba lwa nnamba ssatu oba mu kisenge wakati mu Premier League e Bungereza mu Ttiimu ya Arsenal n'eggwanga lye erya Scotland Nationl Team.[1]

Tierney yayita mu mitenderera gyonna egy'abavubuka mu ttiimu ya Celtic era yafuna omupiira gwe ogwasooka mu Ogwokuna 2015, era omupiira gwe ku ttimu y'eggwanga yagufuna mu Gwokusatu 2016. Yeegatta ku Arsenal mu Gwomunaana omwaka 2019 ku bukadde 25 obwa Ppawundi, ku ssente zino nga zaali za byafaayo mu ggwanga lya Scotland n'omuzannyi w'eggwanga lino.

Ebyafaayo bye ku kkiraabu

[kyusa | edit source]

Obuto bwe n'omupiira gw'ekivubuka

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa Douglas ku kazinga ka Isle of Man, Tierney yagenda mu Wishaw mu Scotland ku myezi 10. Yayamba Celtic ng'omwana n'gyegattako ku myaka musanvu gyokka egy'obukulu. Yafuna obuyigirize bwe mu masomero ga Motherwell aga St Brendan's RC Primary ne Our Lady's High (omwaka gumu n'abavubuka banne abasamba omupiira, abalongo Nicky and Chris Cadden) bo baasomera ku St Ninian's High School, Kirkintilloch, eyali enkolagana y'enkulakulana y'abavubuka bano ku ttiimu ya Celtic gye baali bakoze nayo omukago. Okuva obuto abadde ayogera ng'awa essuubi ng'akoppa omugenzi Tommy Gemmell eyali omuzannyi w'omupiira Nakinku mu Scotland, nga wa kibiina kya Lisbon Lions ttiimu eyakulira mu Wishaw (okusingira ddala, Craigneuk) ate baazannya mu kifo kye kimu.[2]

Yagenda akuzibwa ku mitenderera egy'enjawulo era yayatiikirira nnyo ng'omusambi azannya ku mabbali gy'ekisaawe mu nkulakulana y'abazannyi ku ttiimu mu kuzibira wamu n'okulumba. Yatambula ne ttiimu omulundi ogwasooka mu mipiira gy'okwegezaamu e Finiland mu Gwomunaana 2014 era n'afuna omupiira gwe ogwasooka Celtic bwe yali ezannya ne Tottenham Hotspurs mu mupiira gw'okwegazzamu era baakubwa. Tierney omupiira guno yaguyita nti "Ekirooto kituukiridde".[3] Yayongera okuzannya n'ettiimu okumalako sizoni 2014–15, era mu Gwekkumi 2014 mu mupiira gwa Liigi y'abavubuka nga battunka ne Heart of Midlothian yateeba ggoolo ennungi okuva ku bbokisi y'entabwe ye.

Celtic

[kyusa | edit source]

2015–16: Omupiira ogwasooka n'okuyitamu kwe

[kyusa | edit source]

Tierney yasamba omupiira gwe ogwasooka ogw'ekikugu nga 22 Ogwokuna 2015, bwe yava ku katebe mu ddakiika eya mu Scottish Premiership nga basamba Dundee. Yazannya omupiira omulala mu sizoni bwe yazannya kumpi essaawa nnamba bwe baali battunka St Johnstone ku bugenyi.[4]

Tierney yanyumirwa nnyo sizoni ye eya 2015–16, bwe yazannya emipiira egisoba mu 30 era gyamuyamba nnyo okufuuka ow'enkizo mu ttiimu ya Celtic bwe yasikira Emilio Izaguirre nga nnamba ssatu asooka ku kisaawe.[5] Ku lw'omutindo gwe, kyamuweesa ekirabo ky'omuzannyi omuto asinga mu mwaka ekigabibwa abazannyi n'abawandiisi b'emizannyo,[6] Celtic bwe yali ewangula ekikopo kya Sizoni eyo. Newankubadde yali ayayaanirwa Ttiimu okuva mu Premier League, Tierney yateeka omukono ku ndagaano empya nga ya myaka etaano nga 24 Ogwomukaaga 2016, eyamukuumira ku kisaawe kya Parkhead okutuuka omwaka 2021.[7] Oluvannyuma lw'okusamba emipiira egyasooka mu bibinja bya UEFA Champions League, Tierney yafuna obuvune mu kakongovvule bwe yali mu kutendekebwa nga 27 Ogwekkumi 2016 obwamutwala ku ndiri okumala emyezi ebiri nga tasamba mupiira.[8] Bwe yali omulwadde ekyamuleetera n'okusubwa ffayinolo ya League Cup Final, yafuna obujjanjabi bw'ekibegabega era yalabanga e mipiira gya Celtic ng'omuwagizi nakinku mu kkampuni eno gye yabeeranga ne mikwano gye.[9]

2017–2019: Ebikopo by'awaka ebisatu eby'omujjirano

[kyusa | edit source]

Nga 22 Ogw'oluberyeberye 2017, ng'amaze okusubwa emyezi esatu nga tazannya mupiira, yakomawo okuzannya omupiira ng'alindiriddwa eby'ensusso era yazannya mu mupiira gw'ekikopo ki Scottish Cup bwe baali battunka ne Albion Rovers.[10] Tierney yaddamu n'aweebwa engule y'omuzannyi omuto asinze banne omulundi ogw'okubiri ogw'omuddiring'anwa mu Gwokutaano nga 7, ekyamufuula omuzannyi ow'okubiri okukikola oluvannyuma lwa Craig Levein mu 1986.[11] Yafuna obuvune ku luba bwe yali azannya 2017 Scottish Cup Final era yali alina okukyusibwa amangu ddala okufuna obujjanjabia.[12] Celtic yawangula 2–1 okumalayo okuwangula ebikopo bisatu ebyawaka mu Sizoni era baamalako nga tebakubiddwamu. Newankubadde yamala akaseera kawanvu nga taliiwo, yalabikira mu mipiira 40 Sizoni eyo.

Nga 8 Ogwomunaana 2017, Tierney yalondebwa okubeera Kapiteeni era n'atandika okuzannya mu kisenge wakati ng'aduumira abavubuka abato mu kisenge mu kikopo kya Scottish League Cup bwe baali battunka ne Kilmarnock; Celtic yawangula omuzannyo ogwo ku ggoolo 5–0, nga Tierney akoze omukisa oguvaamu ggoolo ate era naye yateeba ggoolo empitirivu obulungi okuva mu yaadi 40. Nga 30 Ogwekkumi, nga wayiseewo wiiki ng'amaze okuteeba ggoolo ey'omugaso mu buwanguzi mu Liigi, baali basemberedde abasinga okuvuga ku kikopo sizoni eyo aba Aberdeen , era yayongezaayo endagaano ye ne Celtic okutuuka mu mwaka 2023.[13]

Ku nkomerero ya sizoni, yali amaze okukung'anya ebirabo ebirala bweyawangula ekirabo ky'abazannyi n'abawandiisi b'emizannyo ng'omuzannyi omuto asinze okukyanga omupiira sizoni ey'okusatu ey'omuddiring'anwa era yakola omulimu munene nnyo mu kuwangula ebikopo bisatu mu ngeri y'ebyafaayo ku ttiimu bwe yazannya emipiira egisoba mu 50 era yazannya ffayinolo zonna omwali okuwangula entirety 2–0 ku Motherwell.[14][15] Tierney yazannya bwe baali bawangula Aberdeen mu 2018 Scottish League Cup Final nga 2 Ogwekkumin'ebiri 2018.[16] Obuvune bw'essaabiro bwe yafuna bwategeeza nti yali agenda kusubwa emipiira era yakomawo nga , 24 Ogwokubiri 2019.[17] Yafuna Aniya nga kitegeeza yalina okulongoosebwa buli kiseera.[18]

Arsenal

[kyusa | edit source]

2019–2022: Obuwanguzi bw'ekikopo kya FA n'obuvune

[kyusa | edit source]

Nga 8 Ogwomunaana 2019, Tierney yateeka omukono ku ndagaano ne ttiimu ya Premier League eya Arsenal,ku bukadde 25 obwa ppawundi.[19][20] Tierney yasubwa emipiira mu kitundu kya sizoni ekyasooka ekya 2019–20, oluvannyuma lw'okulongoosebwa aniya mu gwokutaano 2019.[21] Yazannya omupiira gwe ogwasooka Arsenal bwe yali ekuba Nottingham Forest 5 + 0 mu kikopo kya EFL Cup nga 24 Ogwomwenda.[22] Tierney yakola omukisa ogwavaamu ggoolo eyasooka eyateebwa Gabriel Martinelli Arsenal bwe yali ekuba Standard Liège ggoolo 4–0 wiiki eyaddako mu mupiira ogwazannyibwa awaka.[23] Yafuna omupiira gwe ogwasooka mu Premier League nga 27 Ogwekkumi, bwe baali bakola amaliri ga 2–2 ne Crystal Palace. Sizoni ye yeeyongera okutaataganyizibwa bwe yafuna obuvune mu kibegabega Arsenal bwe yali ezannya ne West Ham United.[24]

Tierney yakola bulungi nnyo ku ttiimu ye mu Premier League oluvannyuma lw'obulwadde bwa COVID-19 era yafuna ekirabo ky'omuzannyi asinze mu Arsenal eky'omwezi gwomukaaga.[25] Yateeba ggoolo ye eyasooka nga 26, ogwomusanvu Arsenal bwe yali ewuttula Watford 3–2 mu mupiira gwa Sizoni ogwasembayo 2019–20 .[26] Mu gwomunaana nga 1 2020, Tierney yalondebwa okutandika omupiira gw'akamalirizo ogw'ekikopo kya FA Cup Final nga battunka ne Chelsea, era Arsenal yawangula ekikopo kyayo ekya 14.[27]

Nga 28 ogwomunaana 2020, Tierney yali ttiimu etandika mu 2020 FA Community Shield, Arsenal bwe yawangula Liverpool 5–4 mu kakodyo k'okusimulagana peneti oluvannyuma lw'okulemagana 1–1 mu ddakiiika 90. Nga 2 ogw'oluberyeberye 2021, Tierney yateeba ggoolo y'omuzannyo eyasooka mu liigi Arsenal bwe yali emegga West Bromwich Albion ate era n'akola omukisa oguvaamu ggoolo eyateebwa, Alexandre Lacazette.[28] Goolo amakula gye yateeba yalondebwa nga eyomwezi ogw'oberyeberye ku mu mukutu gwa Arsenal ogwa yintaneeti.[29] Nga 25 Ogwokubiri, yateeba ggoolo bwe baali bawangula Benfica 3–2 mu kikopo kya Europa League ku mwetoloolo ogwa 32, ekyamufuula munnansi wa Scotland eyasooka okuteebe Arsenal mu mpaka za Bulaaya okuva Willie Young bwe yakikola mu gwokusatu1980.[30] Mu gwomukaaga 2021, yateeka omukono ku ndagaano empanvu ne Arsenal.[31]

Tierney yazannyira Arsenal emipiira gy'omujjira mu sizoni ya 2021–22 okutuusa bwe yafuna obuvune bw'evviivi mu gwokusatu.[32] Arsenal yakubwa emipiira gya Crystal Palace, Brighton, Tottenham ne Newcastle oluvannyuma lw'obuvune buno, era baasubwa katono okukiika mu mpaka za Bulaaya eza Champions League ez'okusunsulamu abanaazetabamu.[32] Kyazuulibwa nti kwonna kwaali kusiwa nsaano ku mazzi, Obulamu bwa Arsenal obwaddako bwayongera okukaluba Tierney yafuna obuvune mu vviivi mu gwokubiri, omwezi gwaddako obuvune bw'asajjuka bwe yali atambula ng'agenda okutendekebwa.[32] Yakomawo mu nsiike ku ntandikwa ya Sizoni ya 2022–23 .[32]

By'akoze ku ttiimu y'eggwanga

[kyusa | edit source]

Tierney yazannyira Scotland okuviira ddala ku mutendera gw'abali wansi w'emyaka 18 ne 19.[33] Yali asazeewo okuzannyira ttiimu ye ey'ekyalo eya Ellan Vannin ekiikira akazinga ka Isle of Man nga when the ConIFA empaka z'ensi yonna zisambibwa.

Tierney yayitibwa ku ttiimu ya Scotland enkulu nga 10 Ogwokusatu 2016 bwe baali bazannya omupiira gw'omukwano ne Denmark.[34] Tierney yazannya ekitundu ky'omuzannyo ekyasooka era Scotland yawangula 1–0 ku Hampden Park; yasikizibwa Charlie Mulgrew munne gw'azannya naye mu Celtic kitundu eky'okubiri.[35]

Olw'okuba yali akwata mangu ebimubuuliddwa okusinziira ku muzibizi munne Andrew Robertson,[36] Tierney baamuteeka mu nnamba bbiri mu mipiira gya Scotland bwe baali bazannya Slovenia,[37] Lithuania ne Slovakia, ku ludda lwa kkono mu kisenge ky'abazibizi basatu mu mupiira awaka nga bazannya England mu kusunsuala abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna mu 2017.[38]

Tierney yalondebwa nga Kapiteeni mu mupiira gw'omukano Scotland bwe yali ezannya ne Budaaki mu gwekkumi n'ogumu mu 2017,yazannya ng'omuzibizi akuba wakati era baakubwa 1–0.[39]

Mu gwekkumi 2018, Tierney yeeteeba ggoolo esalawo bwe baali bakubwa 2–1 ku Israel mu kikopo ky'amawanga ga Bulaaya.[40] Bwe yali ayogera oluvannyuma lw'omupiira, Robertson yagamba nti ye neTierney baazanyisibwa mu bifo we batasamba mu nsamba ya 3–5–2 eyaleetebwa Alex McLeish okusobola okusambisa abazannyi bano .[41]

Mu gwekkumin'ogumu 2019, Tierney yaggyibwa mu ttiimu ya Scotland eyali egenda okuttunka ne Cyprus ne Kazakhstan mu mpaka za Bulaaya eza UEFA Euro 2020 olw'okufuna obuvune mu ssaabiro.[42] Mu gwekkumi 2020, yawalirizibwa okuva mu ttiimu eyali egenda okuzannya empaka za Bulaaya eza Euro 2020 ku luzannya oluddirira olwakamalirizo nga bazannya Israel bwe yafuna okukonagana ne Stuart Armstrong, eyali afunye obulwadda bwa COVID-19.[43] Oluvanyuma kya kakasibwa Armstrong, Tierney ne Ryan Christie nti baali bazannya bonna obuzannyo bwa ttivvi nga bali mu kisenge kimu.[44]

Tierney yakola emikisa esatu egivaamu ggoolo nga bakuba Faroe Islands 4–0 nga 31 ogwokusatu 2021, newankubadde yazannya mu ksenge wakati.[45] Era yazannyira Scotland emipiira ebiri egyaali jikereyemu egya UEFA Euro 2020 ezaakamalirizo mu gwomukaaga nga 2021, bwe yasubwa omupiira ogwaggulawo nga bazannya Czech Republic olw'obuvune.

Tierney yateeba ye eyasooka ku Scotland nga 24, ogwokusatu 2022 bwe baali bazannya omupiira gw'omukwano Poland ku kisaawe kya Hampden.[46] Amangu ddala yafuna obuvune ng'atendekebwa obwamuleetera okusubwa ekitundutundu kya sizoni ekyaddako ekya 2021–22. Kino kyamuviirako okusubwa ez'okusunsulamu abanaazannya mu mpaka z'ensi yonna nga battunka ne Ukraine mu gwomukaaga era Scotland yakubwa 3–1.

Amawulire

[kyusa | edit source]

Tierney yateekebwa ku mikutu gy'amawulire egy'ebyemizannyo egya Amazon Original ne docuseries byonna kye kimu Arsenal eyakola firimu ku ttiimu ku batendesi n'abazannyi emabega waayo ssaako n'obutundutundu obwalagibwa ku ntimbe sizoni ya 2021–22 yonna.[47]

Emipiira gy'azannye

[kyusa | edit source]

Ttiimu

[kyusa | edit source]

Template:Updated[1]

Emipiira gy'azannye, ggoolo ku ttiimu, sizoni n'empaka
Ttiimu Sizoni Liigi Ttiimu y'eggwanga Ekikppo kya Liigi Bulaaya Ebirala Omugatte
Ekibinja Emipiira Ggoolo Emipiira gy'azannye Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Goals
Celtic 2014–15 Scottish Premiership 2 0 0 0 0 0 0 0 2 0
2015–16 Scottish Premiership 23 1 4 0 2 0 4 0 33 1
2016–17 Scottish Premiership 24 1 5 1 2 0 9 0 40 2
2017–18 Scottish Premiership 32 3 5 0 4 1 14 0 55 4
2018–19 Scottish Premiership 21 0 2 0 3 0 14 1 40 1
Total 102 5 16 1 11 1 41 1 0 0 170 8
Arsenal 2019–20 Premier League 15 1 3 0 2 0 4 0 24 1
2020–21 Premier League 27 1 1 0 0 0 9 1 1[lower-alpha 1] 0 38 2
2021–22 Premier League 22 1 1 0 2 0 25 1
2022–23 Premier League 6 0 0 0 0 0 1 0 7 0
Omugatte 70 3 5 0 4 0 14 1 1 0 94 4
Omugatte wonna 172 8 21 1 15 1 55 2 1 0 264 12
Emipiira gy'azannye ne ggoolo ku ttiimu y'eggwanga n'omwaka
Tiimu y'eggwanga Omwaka Empiira gy'azannye Emipiira
Scotland 2016 2 0
2017 7 0
2018 3 0
2020 4 0
2021 14 0
2022 2 1
Omugatte 32 1
As of match played 24 March 2022. Scotland score listed first, score column indicates score after each Tierney goal.[48]
International goals by date, venue, cap, opponent, score, result and competition
Nnamba Naku z'omwezi Ekifo Emipiira Gw'avuganya ggoolo bwe gwa ggwa g'ovuganya
1 24 March 2022 Hampden Park, Glasgow, Scotland 31  Poland 1–0 1–1 Ogwomukwano

By'azze awangula

[kyusa | edit source]
  • Scottish Premiership: 2015–16, 2016–17, 2017–18, 2018–19
  • Scottish Cup: 2016–17, 2017–18
  • Scottish League Cup: 2017–18, 2018–19

Arsenal

  • FA Cup: 2019–20
  • FA Community Shield: 2020

Individual

  • UEFA Champions League Breakthrough XI: 2017
  • PFA Scotland Young Player of the Year: 2015–16, 2016–17, 2017–18
  • SFWA Young Player of the Year: 2015–16, 2016–17, 2017–18
  • Celtic Young Player of the Year: 2015–16, 2016–17, 2017–18
  • SFSA Supporters' Player of the Year: 2017
  • Scottish Premiership Player of the Month: October 2017
  • PFA Scotland Team of the Year (Premiership): 2015–16, 2016–17 2017–18[49]
  • PFA Scotland Goal of the Season: 2017–18[49]
  • Celtic FC Goal of the Season: 2017–18[50]

Laba na bino

[kyusa | edit source]
  • List of Scotland international footballers born outside Scotland
  • List of Scotland national football team captains

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Omuyumbagano

[kyusa | edit source]

 

  1. 1.0 1.1 https://int.soccerway.com/players/kieran-tierney/323402/
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named gemmell
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named debut
  4. https://int.soccerway.com/matches/2015/04/22/scotland/premier-league/dundee-fc/celtic-fc/1704591/
  5. https://web.archive.org/web/20150924043302/http://www.fitbastats.com/celtic/player_games.php?playerid=6774&page=2
  6. https://www.bbc.co.uk/sport/football/36183405
  7. https://web.archive.org/web/20190525112225/https://www.scottishfwa.com/young-player-of-the-year-1
  8. https://web.archive.org/web/20190525112225/https://www.scottishfwa.com/young-player-of-the-year-1
  9. https://www.bbc.co.uk/sport/football/37797772
  10. https://www.bbc.co.uk/sport/football/37797772
  11. https://www.bbc.co.uk/sport/football/37797772
  12. https://www.bbc.co.uk/sport/football/37797772
  13. https://www.bbc.co.uk/sport/football/40829930
  14. https://www.bbc.co.uk/sport/football/41810466
  15. https://www.bbc.co.uk/sport/football/42056522
  16. https://www.bbc.co.uk/sport/football/44091573
  17. https://www.bbc.co.uk/sport/football/46337733
  18. https://www.dailyrecord.co.uk/sport/football/football-news/celtic-star-kieran-tierney-blasts-14048209
  19. https://www.dailyrecord.co.uk/sport/football/football-news/celtic-star-kieran-tierney-blasts-14048209
  20. https://www.arsenal.com/news/kieran-tierney-joins-long-term-deal
  21. https://www.bbc.co.uk/sport/football/49283667
  22. https://www.bbc.co.uk/sport/football/49780536
  23. https://www.bbc.co.uk/sport/football/49823156
  24. https://www.bbc.co.uk/sport/football/49874359
  25. https://www.bbc.co.uk/sport/football/50113576
  26. https://www.arsenal.com/news/tierney-our-june-player-month
  27. https://www.arsenal.com/news/tierney-our-june-player-month
  28. https://www.skysports.com/football/news/11095/12059158/arsenal-1-1-liverpool-5-4-on-pens-pierre-emerick-aubameyang-secures-community-shield-shootout-win
  29. https://www.bbc.com/sport/football/55450393
  30. https://www.arsenal.com/news/kieran-tierney-tops-january-goal-month-poll
  31. https://www.bbc.com/sport/football/56185885
  32. 32.0 32.1 32.2 32.3 https://www.skysports.com/football/news/11670/12341803/kieran-tierney-feels-amazing-after-signing-long-term-arsenal-contract-extension
  33. https://www.skysports.com/football/news/11670/12341803/kieran-tierney-feels-amazing-after-signing-long-term-arsenal-contract-extension
  34. http://www.scottishfa.co.uk/football_player_profile.cfm?page=1848&playerID=141507&squadID=9
  35. https://www.bbc.co.uk/sport/football/35770855
  36. https://www.bbc.co.uk/sport/football/35770855
  37. https://www.bbc.co.uk/sport/football/45459420
  38. https://www.bbc.co.uk/sport/football/39302192
  39. https://www.theguardian.com/football/blog/2017/jun/11/scotland-england-five-talking-points-tierney-strachan-sterling-oxlade-chamberlain
  40. https://www.bbc.co.uk/sport/football/41840573
  41. https://www.bbc.co.uk/sport/football/41840573
  42. https://www.bbc.co.uk/sport/football/45832123
  43. https://www.bbc.co.uk/sport/scotland/50389854
  44. https://www.bbc.co.uk/sport/football/54453593
  45. https://www.bbc.co.uk/sport/football/54453593
  46. https://www.bbc.co.uk/sport/football/56598023
  47. https://www.bbc.com/sport/live/football/60807549
  48. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named National Football Teams
  49. 49.0 49.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named pfa 2018
  50. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named brown treble